Soft Radio
Lyrics

Owomukwano by King Saha Lyrics

Owomukwano – King Saha

Aah, ow’omukwano wankuba

Wankuba nze sirabangayo akwenkana

Related Articles

N’ewange gye nsula

Njagala kuvaayo nzije eyo gy’osula

Walaayi wanzita

N’emmere yagaana emmere neewola, oh

Appetite yambula

Nga njagala nkusange omwagalwa

Lwe wasiibula

Kw’olwo walaayi seebaka, maama

Omutima guluma

Yanguwa ogukwateko walaayi guluma (yeah)

Omutima guyokya

Guyiire ku mazzi guwole maama guyokya walaayi

Walaayi biruma

 

Biruma nga simanyi eyo gy’osula

Mukwano gw’aba anjagala

(Nze gw’aba anjagala)

Nze ndi wuwo nzenna

(Nze gw’aba anjagala)

Ebirungi gw’aba abimpa

(Gw’aba abimpa)

Ne bye nina bibyo byonna

(Gw’aba anjagala)

Mukwano gw’aba anjagala

(Gw’aba anjagala)

Ne bye nina bibyo byonna

(Nze gw’aba anjagala)

Nze ebirungi gw’aba abimpa

(Gw’aba abimpa)

Nze njagala gwe wekka

(Gw’aba anjagala)

Eeh, olumu gwe n’obula

 

Nenkuba essimu essimu yo nga tevuga, maama

Mukwano wanzita (eh)

Simanyi kikusumbuwa

Luli nze nalayira

Nalayira nti ndibeera naawe nnyaabula

Emyaka giyise

Ekiseera kiyise mukwano gwe ansumbuwa

Eno love n’eruma

Nenkunoonya gyoli yonna maama n’obula

Emikwano nentuma negikugamba

Ate ne ŋŋamba maama gibula

Mukwano yanguwa

Yanguwa omanye mukwano biruma

Gwe bw’obeera gy’osula

Manya nti nange gye nsula ndi eno biruma aah

Walaayi biruma

Sala amagezi omponye mukwano biruma aah

Ndoota ndi naawe

Nga ndi naawe eeh

Tuula la la la, oh yeah

Mukwano gw’aba anjagala

(Nze gw’aba anjagala)

Nze ndi wuwo nzenna

(Nze gw’aba anjagala)

Ebirungi gw’aba abimpa

(Gw’aba abimpa)

Ne bye nina bibyo byonna

(Gw’aba anjagala)

Mukwano gw’aba anjagala

(Gw’aba anjagala)

Ne bye nina bibyo byonna

(Nze gw’aba anjagala)

Nze ebirungi gw’aba abimpa

(Gw’aba abimpa)

Nze njagala gwe wekka

(Gw’aba anjagala)

Eeh, ow’omukwano yanguwa

Yanguwa dear ewaka wagenda kuntama

Mukwano yanguwa sikyafuna tulo

Ogenda kuntama aah ah written by Brown wiz

Oh oh oh oh ah

 

Related Articles

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Back to top button