Kitooke Kyagonja By B2C Ent (LYRICS)
Nessim Pan Production
Julio
Bwe naakuba, akayinja ku ddinisa lyammwe be ttu
Okimanye nti wendi
Wansi w’ekitooke kya gonja
Wensitamye mu kikooti ky’ekikuusikuusi
Naye leero baby tebaleka mbwa kunnuma
Omanyi mukulu wo mmutya alina ettima
Mukene wa leero tomuwa kkapa
Emmere eriyo, gyendese ewaka nnuma
Ninda obudde bugero
Mummy mugambe nkimye kitabo
By’ebigere bino nkulabeko
Leero embwa yammwe gibuulire ndi muko
Mr. Lee & Julio
Ndi wano mu kitooke kya gonja
Nze wentudde, mukwano yanguwa
Okufiira mu kitooke kya gonja
Siggya kuseetuka nga sinnaba kukulaba
Ndi wano mu kitooke kya gonja
Nze wentudde, mukwano yanguwa
Ndayira okufiira mu kitooke kya gonja
Siggya kuseetuka nga sinnaba kukulaba
Bobby
Obudde bwa kinnyikaggobe enkuba
Ate ne love yo lubyamira annuma
Nsigaddeko kikuba mukono dear
Ky’ekindeese obukkolokkolo mu kisaka
Nekwese mu kitooke kitaawo tandaba
Ne bu kaamukuukulu bwegasse ku nkima, eh!
Bungeya nti omuko nga wa sswaga!
Mmulinze nsazeeko nga ntudde ku luwanyi nnyabo!
Mr. Lee & Julio
Ndi wano mu kitooke kya gonja
Nze wentudde, mukwano yanguwa
Okufiira mu kitooke kya gonja
Siggya kuseetuka nga sinnaba kukulaba
Ndi wano mu kitooke kya gonja
Nze wentudde, mukwano yanguwa
Ndayira okufiira mu kitooke kya gonja
Siggya kuseetuka nga sinnaba kukulaba
Mr. Lee
Nzijidde ku lundaaganya, omukwano guluba
Nzize nga nsotta maanyi ga kifuba
Mpitidde mu sitenseni nga nina okubeeraga
Nga bwenzikirira nzije okukulaba
Obulenzi bwokukyalo kyammwe obutera okukwefasa
Nzize mbusabulidde nga nina okukaluba
Sezaala yandiba nga gwempiseeko ku ludo
Nga neebisse amaaso bulaala mu kkubo
Olutuuse ku museetwe nze nenkuba endobo
Ng’omuliro gw’okukulaba gususse ku bikondo
Mr. Lee & Julio
Ndi wano mu kitooke kya gonja
Nze wentudde, mukwano yanguwa
Okufiira mu kitooke kya gonja
Siggya kuseetuka nga sinnaba kukulaba
Ndi wano mu kitooke kya gonja
Nze wentudde, mukwano yanguwa
Ndayira okufiira mu kitooke kya gonja
Siggya kuseetuka nga sinnaba kukulaba