Soft Radio
Lyrics

Buvunanyizibwa Bwo by Rema Namakula ft. All Stars Lyrics

Buvunanyizibwa bwo nange n’oli (eh heee)
Buli omu waali waali (eh)
Singa buli omu waali afaayo
Government (nga naawe ofaayo)
Buvunanyizibwa bwo nange n’oli
Buli omu waali waali (eh hee)
Singa buli omu waali afaayo

Rema
Ka nnyabo
Kandizadde bulungi bambi
Kale singa
Abakugu baamanya nebakasalira amagezi
Kaakanya kuyenga ddagala
Naye mu ssanya aah
Gye baakagambira walwawo okulaba abakugu

Pr. Bugembe & Rema
Nze ŋŋamba akaana kandikuze kko naye
Ekibi yalyanga bubi nnyo naye
Bisa kulwawo
Nako nekakoowa okulwana, eeh
Tekaalaba kasana ka ku nsi
Oba oli awo kandikuze eeh
Singa, n’omwami yafaayo ekimala (eh eeeh)

All
Buvunanyizibwa bwo nange n’oli ooh oh
Okuba abalamu
Bwe tuba abalamu it means
Olwo tukole enkulaakulana
(Everyone is accountable)
Buvunanyizibwa bwo nange, ooh oh (kikukwatako)
Okuba abalamu (kikukwatako)
Bwe tuba abalamu it means
Olwo tukole enkulaakulana (eeeh eh)

Related Articles

Mesach & Joanita
Mukenenya atukenenya okukira bu mukene
Enviiri n’azifuula bu munyerere
Tusobolera ddala okumufumya
Singa eddagala tutandika mangu
Hmmm okutandika twanditandise
Singa ebikola mu malwaliro bibeerayo
N’abasawo nebatabikukulira kubizza
Mu bufunda bitunda buwanana
Ggoolo yandibadde emu fenna mwetuteeba (mwetuteeba)
Eby’obulamu netubiggyamu katemba (katemba)
Kkansa, sukaali, pressure
Byonna birwadde biyigganya muntu!
Olya ki?
Wejjanjaba otya?
Weeyisa otya?
Obwo buvunaanyizibwa bwo nange n’oli
Okukuuma obulamu bwo (eh eeh eh, eh eeh)

All
Buvunanyizibwa bwo nange n’oli, ooh oh
(Buvunaanyizibwa bwo)
Okuba abalamu
(Buvunaanyizibwa bwo)
Bwe tuba abalamu it means
Olwo tukole enkulaakulana
(One’s responsibility me say)
Buvunanyizibwa bwo nange, oooh oh
Okuba abalamu
Bwe tuba abalamu it means
Olwo tukole enkulaakulana

Obwongo
Buvunaanyizibwa bwo
Gwe nange n’oli n’ono naawe
Taata, nyweza

Hilderman
Oh my, oh my, oh my
Before you blame any other
Your life is often harder
You got to take care
Life has no spare
Funa medical care, wooyi
My responsibility, your responsibility
Government, government
Eby’obulamu kibulamu
Amaja twongeremu

Bafana
Be kikwatako mutuyambe tufa
Eno embeera mbi
Tetulina basawo na ddagala
Ab’ebyobulamu mukimanyi mwasoma ba ssebo
Nga n’emirimu mwagiweebwa, kuyambanga bantu
Naye mulinga abatukwatirwa ettima
Anti amalwaliro gaazika nga temuli basawo na ddagala
Gavumenti kikukwatako okufa ku gavumenti yo
Be bantu bo
Naye endwadde ndaba abamu zitumalawo
Mu malwaliro abasawo basasule Finance kikukwatako
Ab’ebyobulamu musomese abantu family planning libe bbago
Maama kwata taata nyweza ggwanga yamba taasa baabo
Gwe tabaaza mulisa baaba enkasi ginyweze omuyaga guugwo
Gavumenti ffa ku bantu baffe baleme kuzikirira

All
Buvunanyizibwa bwo nange n’oli ooh oh
(Buvunanyizibwa bwo)
Okuba abalamu
Bwe tuba abalamu it means
Olwo tukole enkulaakulana
(Sula mu katimba k’ensiri)
Buvunanyizibwa bwo nange
(Kikukwatako)
Okuba abalamu (kikukwatako)
Bwe tuba abalamu it means
(Where everyone is accountable)
Olwo tukole enkulaakulana
(Everyone is a winner)

All
Buvunanyizibwa bwo nange ooh oh
(Buvunanyizibwa bwo)
Okuba abalamu
(Buvunanyizibwa bwo)
Bwe tuba abalamu it means
Olwo tukole enkulaakulana
(Obulamu obulungi y’enkulaakulana)
Buvunanyizibwa bwo nange n’oli, ooh oh
Okuba abalamu
(Buvunanyizibwa bwo, nange ne gavumenti yo)
Bwe tuba abalamu it means
(N’abakulembeze bo abali ku kyalo)
Olwo tukole enkulaakulana
Lekera awo okusinga mu banno
Ono mulwadde, n’oli mulwadde
Gwe weekebeza?

Related Articles

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Back to top button